Munnamagye yeesomye okusiguukulula Ssekikubo muby’obufuzi bwa Lwemiyaga
Ng’ebbugumu ly’okulonda kwa 2026 ligenda litandika okukula e Lwemiyaga waliwo munnamagye eyawuumula eyeesomye okusiguukulula Theodore Ssekikubo mu kifo kyeyakamalamu kati emyaka 24. Brig.Gen. Emmanuel Rwashande yafunvubidde okulesa ssekikubo ekifo kino nga agamba nti ebbanga lyonna ly’amaze mu palamenti abadde mu ntalo ezitaggwa ne bakulembeze banne.