Munnamateeka Eron Kiiza, omulamuzi Singiza agaanye okumutaasa ku kkooti y’amagye
Omulamuzi wa Kkooti enkulu, Douglas Singiza, agobye okusaba okwateekebwayo bannamateeka ba Eron Kiiza nga baagala kkooti eno emwejeereze era eragire ekitongole ky’amakomera okumuyimbula, nga balumiriza nti okubeera kwe mu komera kuli mu bumenyi bw’amateeka kubanga kkooti y’amagye eyamusindikayo yajungululwa kkooti ensukkulumu.Bw’abadde awa ensala ye olunaku olwaleero, Omulamuzi Singiza ategeezezza nti newankubadde ng’okusaba kuno kwandibaamu eggumba, baakuteeka mu kkooti nkyamu.