Museveni atadde obukadde 100 mu SACCO ya bannamawulire
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nga gavumenti bw’egenda mu mu n’okuyamba bannamawulire kuba bakolera mu bugubi ng’ate n’ensasulwa gye bakolera si y’eyo ematiza. Atadde obukadde 100 mu SACCO ya bannamawulire ab’omu bitundu by’e Kigezi n’abasuubiza n’ekidduka mwe banaakoleranga emirimu gyabwe. Museveni abadde awunzika okulambula okw’ennaku essatu mu bitundu by’omu Kigezi gy’abadde nga alambula engeri enteekateeka ya PDM gy’etambulamu.