Nabbanja asiimye emirimu gya Sarah Mateke , Among akunze ababaka okuba obumu
Sipiika wa palamenti Anita Among, asabye ababaka ba palamenti okukomya okwerumaruma n'okulwanagana wabula babe bumu ga yengeri yokka egenda okunyweza obwa sseruganda mu palamenti . Bino Among abyogeredde mu kusaba okw’enjawulo okutegekeddwa palamenti okusabira omwoyo gw’abadde minisita omubeezi ow’ebyokwerinda ate nga ye Mubaka omukyala owa Kisoro Sarah Mateke.Ssaabaminsita Robina Nabbanja omugenzi amwogeddeko nga omuntu abadde afaayo ennyo kukyusa obulamu bw’abaana n'abantu abamwetolodde.