Nancy Kalembe akyalina ekirooto ky’okukulembera Uganda
Omu ku baavuganya ku bwa pulezidentimu mwaka 2021 era nga yeyali omukyala yekka mu lwokaano Nancy Kalembe alaze obutali bumativu olw'obukambwe gavumenti ebitongole ebikuuma ddembe bwebyakozesezza eri naddala bannamawulire mu kulonda okwokudibwamu okwabadde e Kawempe. Ono agamba nti mu mbeera ng'eno gavumenti ya NRM egwana ejjukire nnyo ebyaliwo mu gavumenti enkadde naddala ku ddembe ly'obuntu ne by'obufuzi ebya kirwanire.