Norbert Mao avumiridde poliisi okukwata ab’oludda oluvuganya
Minisita we by’amateeka Nobert Mao munyikaavu olw’engeri ab’ebyokwerinda gye bafuddemu abavuganya gavumenti abalabe b’eggwanga. Mao agamba nti eneeyisa y’abakuuma ddembe eri abavuganya gavumenti ereseewo obunkenke , ne batuuka n’okubakwata ng’abakwata abatujju. Kati ateesa nti watondwewo akakiiko akeetongodde kakuumire eriiso ku nkwasisa y’amateeka mu ggwanga. Mao bino abyogeredde Ntebe, bannakyewa abalwanirira eddembe ky’obuntu bwe babadde batudde okusalira wamu amagezi ku ngeri eddembe ly’obuntu gyeriyinza okukwaatibwamu.