NUP ebusaabusa omuwendo gw'abalonzi ba Kawempe North akakiiko gwe kalina
Okusinziira ku b'ekibiina ki National Unity Platform, omuwendo gw'abalonzi mu Kawempe North gwandiba omunene okusukka ku balonzi abawandiise abalina okulonderayo.Okusinziira ku kakiiko k'eby'okulonda, Kawempe North erina abalonzi emitwalo 20 wabula nga aba NUP bebuuza ddi omuwendo guno lwe gwalinnyeemu okuva ku balonzi 164000 abaalonderayo mu 2021.Bano babadde mu nsisinkano n'akakiiko k'eby'okulonda okwogeregezanyaamu nga akalulu kano kabindabinda nga 13 Omwezi guno.