OBUBBI BW’ENTE: E Nakasongole poliisi enunudde 300, esabye abatuuze okubakwatizaako
Abaluunzi b’ente mu district y’e Nakasongola baagala polisi eyongere amaanyi mu bikwekweto by’okufuuza ababbi b’ente abatigomya ekitundu kyaabwe. Bano bewuunya engeri ente gyezibbibwamu neziyisibwa ku kkubo okuli n’abaserikale kyokka ababbi n’ebalema okukwatibwa. Wabula Poliisi egamba nti ku luno erumye n’ogwengulu ng’eriko ente ezisoba mu 300 z’eyakanunula mu mikono gy’ababbi mu myezi mukaaga egiyise.