Obulombolombo mu matikkira ga Kabaka: Biibino ebitabuusibwa maaso nga batuuza omulangira
Okulya Obwakabaka tekwaali kuyisa muka mukisero olw'obulombolombo,emizizo n'okuwanuuza okwagobererwanga okussunsula omulangira asaanidde okutuula ku Namulondo.Olunaku olwegulo twakulaze emboozi ey'emikolo omulangira gyeyayisibwangamu okufuuka kabaka, kati olwalero katulabe eby'enkizo ebigobererwa ku mikolo gy'Amatikkira e Naggalabi.Ronald Ssenvuma obulombolombo kwosa n’ebyenkizo ebiri mu kifo kino abirondode.