OBUSEEGU MU SSOMERO:Omusomesa yagaana okusomesa muggyawe
Abazadde ku Ssomero lya Kirumbi primary school e Mubende abalaze okutya olw’omutindo gwebyensoma kusomero lino ogusereba buli lukya. Bano omwaka oguwedde baatuuza abayizi 31, abayizi 2 bokka beebaasobola okuyita.
Kyoka obuzibu babutadde kubasomesa kusomero lino abatuuka ekikeerezi kusomero saako n’okweyisa mungeri etategeerekeka ey’abasomesa abakyala okuganza abavubuka abato nti nebatandika okuvuganya n’abayizi bebasomesa.