Ogwa Cranes ne Brazaville; waliwo abawagizi abagendedde ku ggaali y’omukka
Wetwogerera nga Uganda eri mu kuttunka n’eggwanga lya Congo Brazzaville mu mupiira gw’okusunulamu abaneetaba mu mpaka za Africa Cup of Nations ezigenda okubaawo omwaka ogujja mu ggwanga lya Morocco. Omupiira guyindira mu kisaawe Namboole.Abamu ku bawagizi abali mu kulaba mupiira guno bakozesezza ggaali y'omukka okuva wano mu Kampala.