Okufiira mu ssannya, ebbula ly’entambula y’ab’embuto kusajjudde embeera mu Arua
Ebbula ly'entambula ennungi okusabaaza abakyala abali embuto okubatuusa mu malwaliro, kizuuliddwa nga kanaluzaala w'okuba ng'omuwendo gw'abakazi abafa nga bazaala gweyongera mu bitundu bye Arua.Mu ddwaliro lya Arua ekkulu wokka, abakazi 279 ku buli bakazi emitwalo 10 tukitegedde nti tebalama newankubadde omuwendo guno gukakkanyeeko okuva ku bakazi 356.Abakulembeze n'abatuuze balowooza nti omulimu gavumenti ekyalina munene,okutaasa abaana bano ate nga ng'erina kukikola mu bwangu.