Okuggya emisango mu kkooti y’amagye: Bannamateeka bambalidde ssaabawaabi wa gav’t
Bannamateeka ababadde baworereza abasibe abali mu kooti y'amaggye bakubye ebituli mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa ssabawaabi wa gavumenti ng'alaga nga bw'ataddewo ekibinja ekigenda okweteregeza emisango gy’abantu baabulijjo egyikyali mu kkooti y'amaggye Bano bagamba nti ssabawaabi talina buyinza bwonna bukola ku fiyiro zino , kuba abaakwata era ababade banonyereza ku misango gyino ssi baserikale ba poliisi wabula bannamaggye Munnamateeka Erias Lukwago agamba nti bbo kyebataddeko omulaka kwekulaba nga abantu baabwe bayimbulwa.