Okugula ebya Ssekukkulu, abasuubuzi baagala gavumenti esale ku misolo
Abasuubuzi abakolera mu Kibuga kampala baagala Gavumenti esale ku misolo gy'ebaggyako kibayambe okukola ku magoba naddala mu kaseera nga kano ak'ennaku enkulu. Bano betusanze nga batunda eby'ennaku enkulu batubuulidde nti abaguzi baakunoonya bunoonya nga kino kiva ku buseere bwabyo. Ekibuga kyonna kisiibye mu mugotteko olw'abantu ababade bazze okwegulira ku byokulya, okwambala n'okwewunda, songa abalala bafuluma kifulume.