OKUKUNGUBAGIRA DR. JINO ABIRIGA: Disitulikiti ye Masindi etuuzizza olukiiko olw’enjawulo
Abakulembeze ba disitulikiti ye Masindi batuuzizza olukiiko olwenjawulo mwe basiimidde emirimu gya Dr. Jino Abiriga 'abadde akulira ebyobulamu mu disitulikti eno.Abiriga yasangiddwa ngattiddwa ku Sande ya wiiki ewedde era ng'omulambo gusuuliddwa mu lujja lwa muliraanwa we.Ab'enganda za Dr. Abiriga nabo olutuula luno tebalutumidde mwana.