Okulonda kwa 2026, okwekeneenya enkalala z’abalonzi kutandika nkya
Akakiiko ke by’okulonda kaagala bannayuganda bonna beenyigire mu kwekebejja enkalaka z’abalonzi okutandika olunaku olw’enkya kiyambeko okukendeeza obuvuyo bwonna obwandyetobese mu kulonda kwa 2026. Okusizniira ku kakiiko k’eby’okulonda, entekateeka eno yakubeera ku mutendera gwa miruka okwetoloola eggwanga lyonna okumala ennaku 21 okutandika n’enkya. Tukitegedde nti kaweefube ono agenderedwamu kuyamba balonzi kukakasa nga amanya gaabwe gakyali ku nkalala, okuwandiisa abatalondangako, songa nabaagala okukyusa awalonderwa bakuyambibwa.