Okulwanyisa ebbula ly’emmeree :Karamoja baagala etteeka eribakaka
Ebbula ly’emmere emala na ddala mu bitundu by’e Karamoja liviirako abantu abamu okumala ennaku eziwera nga tebalina kebazizza eri mumwa likyasaza government entotto. Newankubadde ekitundu ky’e Karamoja kigimu, emmere erimiwayo ntono ddala olw’embeera y’obudde ekyukakyuuka nga basinga kuba na kyeeya ate ekitakiriza birime kubalayo nnyo. Kati waliwo ebbago ly’eteeka ku mmere n’endya ennungi (Food and Nutrition Security Bill 2024) erireetebwa okulaba nga ekizibu ky’enjala mu Karamoja kigonjoolwa.
Mu bbago lino kijja kuba kya buwaze mu buli maka okubaamu ekyaji omuterekebwa emmere eyinza okuliibwa mu bisera by’enjala. Omusasi waffe k'abitumalireyo.