OKUSASULA UMEME: Gav’t ekkiriziddwa okwewola obuwumbi 696
Palamaneti ekkirizza gavumenti okwewola obukadde kumpi obukadde bwa doola 191 nga ziringa obwuumbo 696 okuyambako okusasula ekitongole ki UMEME ekibadde kibunya amasanyalazze muggwanga.
Wabula wabaddewo obuttakkaanya mu kuyisa okwewola kuno nga waliwo abagamba nti babadde balina okulinda omuwendo omutuufu okuva ewa Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ogulina okusasulwa Umeme kyoka nga ebbanga ery'okusasula Umeme kumpi liweddewo.
Umeme yaakukoma okukolera kuno nga 31 omwezi guno wabula nga bwebatasasulwa Uganda egenda kuwa engasi ebbanga ly’emala nga tesasula kitongole kino.