Okusunsula aba S5 kutandise, abaagala aba sayansi bakaluubiriziddwa
Olwaleero amasomero lwe gatandise okunsulamu abayizi abanaagenda mu siniya ey'okutaano , kyoka batubuulidde nga bwebasanze okusomooza mu kusunsula abayizi begande okutwala, nga omutawaana guva ku kyakulemwa kumanya bungi bwa bunonero obuli mu nnyukuta UNEB zeyesigamako okugereka engeri abayizi gye baayitamu.Kino okusinga kinyizze nnyo amasomero agaagala abaana abagenda okusoma amasomo ga sayansi .Kinajjukirwa nti okwawukanako ne bweguzze guba okusunsulamu kwa luno kwesigamiziddwa ku nsoma empya eya siniya eyawaansi, kyokka ne wankubadde nga gavumenti yategeeza nti omwana afunye wakiri D mu ssomo erimu aba asobola okweyongerayo, tukizudde nga amasomero agasinga gaagala abayizi abafuna A ne B.