OKUWA KKOOTI Y’AMAGYE OBUYINZA OBUGGYA:Ababaka ba palamenti bakubaganye empawa
Ababaka ba palamenti bakubangaye empawa ku kya pulezidenti okwagala okukola enoongosereza mu ssemateeka weggwanga nga awakanya ekya kkooti ensukulumu okusazaamu abantu abatali bannamagye okuwozesebwa mu kkooti z’amagye. Abamu ku babaka bakiwagidde kyoka abalala bagamba nti Museveni kyagezaako okukola kivoola ssemateeka w’eggwanga era nga tebagenda kukiwagira Ababaka bagamba nti palamenti terina buyinza bukola mateeka nga gawakanya ensalawo ya kkooti, bino byogeddwa abamu ku babaka ba palamenti olwaleero.