OKUWANGAALA NE KKOOKOLO: Waliwo abeekolamu ekibiina okwegumya
Ku nsi kuno teri kizibu nga kutega matu omusawo okukakutema nti olina ekirwadde kya Kkookolo. Bangi kibamenya emitima oluusi nekibaviirako n'okwennyamira. Waliwo abasalawo obutabikkirizza nebagaana n'okufuna obujanjjabi ate nebabazzaayo nga bayebaayeba. Kati mu kugezaako okumalawo embeera eno, abantu abawangaala n'ekirwadde kino ssaako abo abaakisimattuka, baatandikawo ekibiina ekibataba, nga muno bamanyi okusisinkana nebanyumya ku bye bayitamu beppo n'okwezzaamu amaanyi.