OKUWASA ABAKAZI ABASUKKA MU OMU:Abasumba bawakanyizza ebyayogerwa bannaabwe
Abasumba b'ababalokole basambazze ebyayogerwa basumba bannaabwe nti tekirina buzibu musajja kuba n'abakazi asukka mu omu bwe baalabikirako mu kakiiko ka palamenti akakungaanya ebiroowozo ku bbago ly'etteeka ly'obufumbo. Abasumba bano nabo babadde balabiseeko mu kakiiko ke kamu, nga bagidde wansi w'akakiiko akataba enzirikiriza ka Inter religious council of Uganda. Bano babuulidde akakiiko nti emyaka gyebasomedde Bayibuli mu ndagaano empya, tebalina webaali basomye ssuula ewagira ebyo abasumba bano bye baayogera mu kakiiko kano