OKUYIMBULA ABAWAGIZI BA NUP Maama Wa “Machete” amaaso gamusula mu kkubo
Abamu ku beng'anda za bannakibiina ki NUP abaabade bavunaanibwa mu kooti y'amaggye baagala kooti eno eteeke ekitiibwa mu nsala ya kooti abantu baabwe bayimbulwe.
Aisha Kabanda Maama wa Yasin Ssekitoleko amanyiddwa enyo nga Machete agamba nti yafunye okutya bweyawulidde nga omukulembeze we ggwanga awakanya ensala ya kooti ensukkulumu eyagaanye kooti y'e kinnamaggye okuddamu okuwozesa abantu ba bulijjo.
Ono agamba nti ensala ya kooti eno yabadde emuwadde esuubi naye kati ali mu bwerariikirivu nti omwanawe yandivundira mu kkomera ku misango yye gyakakasa nti teyagizza.