Okwepena palamenti: Sipiika alabudde ab’oludda oluvuganya
Sipiika wa Palamenti Anita Among aweze nga bwagenda okuddukira mu ssemateeka ajjemu akawaayiro kaasobola okukozesa ku b'oludda oluwabula gavumenti singa bagenda mu maaso n'okuzira entuula za palamenti.
Akawaayiro kayagala okuggyayo keeko akasobola okuviirako ab'oludda oluvuganya okufiirwa ebifo byabwe singa bamala emirundi egiwera nga tebeetaba mu ntuula za palamenti.
Among nga akomyewo mu palamenti oluvanyuma lw'okumala akaseera ngawumuddemu olwokuzaala abalongo agamba nti singa abavuganya baweza emirundi 15 nga tebeetaba mu ntuula za palamenti, waakukozesa akawaayiro akogerwako.
Abavuganya nakati bakyaganyi okudda mu palamenti nga babanja abantu baabwe bebagamba nti ab'ebyokwerinda baababuzaawo.