OKWERINDA OBUTUJJU: Ab’ebyokwerinda balambudde ebifo eby’enjawulo mu Kampala
Poliisi etegezeezezza nga bwe yatutte okulabula okwakoleddwa eggwanga lya Bungereza okwerinda ebikolwa eby’obutujju ebiyinza okukolebwa ku Uganda essaawa yonna nga ekikulu kuba emirundi egisinga okulabula kuno kukoleddwa ate ne kituukirira. Ab'ebyokwerinda balambudde ebifo mu Kampala ebikungaaniramu abantu abangi okulaba eby'okwerinda bwe biyimiridde. Wabula poliisi ekukkukuluma olw'okulabula kuno okukolebwa buli kiseera nga si kulambulukufu kubamanyisa bifo ki obulumbaganyi buno we buyinza okukolebwa bafune we batandikira.