OKWETEGEKERA AKALULU KA 2026: Aba UBOS, NIRA n’akakiiko k’eby’okulonda balabiseeko mu kakiiko
Ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola eby'amateeka beelarikirivu nti akakiiko k’ebyokulonda kaandiremererwa okulamba ebifo awalina okulonderwa, olw’ekitongole ky’ebibalo ki UBOS okulwawo okufulumya eby'enkomeredde ebyava mu kubala abantu omwaka oguwedde. Akakiiko kano leero kasisinkanye abakulu okuva mu kakiiko k'ebyokulonda, ekitongole ekiwandiisa abantu ki NIRA n’ekyebibalo ki UBOS, okubabuulira engeri gye beetegekeddemu akalulu ka 2026.