OLUTALO E CONGO: Kagame ataamidde banne olw’okugayaalirira ensonga
Omukulembeze w’eggwanga lya Rwanda Paul Kagame yataamidde bakulu banne ab’amawanga gannamukago gw’obuvanjuba nga abalanga kwefuula kyesirikidde nga ensonga za Congo zisajjuka, kyoka balabye omusaayi gw’abantu gutandise okuyiika ne balyoka bavaayo. Kagame agamba nti buli ayingira mu nsonga zino aba aliko kyeyenoonyeza ekitadde obulamu bw’abantu mu katyabaga nga abakulembeze basirise. Bino yabyogeredde mu nsisinkano tabamawanga gano eyatudde ekipayoppayo okusalira ensonga z’e congo amagezi abayeekera ba M23 gyebaawamba ekibuga Goma.