Olutalo lwa M23; aba motoka z’ebyamaguzi gabeesibye
Tukitegedde nti olutalo olw’omunda mu ggwanga lya Congo wakati w’abayekera ba M23 n’amaggye ga gavumenti lutandise okukosa eby’obusuubuzi wakati wa uganda ne Congo. Kino kiddiridde emmotoka ezibadde zitwala eby’amaguzi e Goma nga ziyita e Bunagana okulemwa okusala, nga kaakano zaakamala wiiki eziwera nga zirinze. Ab’ebyokwerinda batubuulidde nti ababundabunda abasoba mu 300 bebayingira uganda buli lunaku.