Omuserikale eyasse Julius Ssekamwa tannakwatibwa
Police etubuulidde nti nakati tenakwata musajja waayo Charles Bahati agambibwa okuba ng'olunaku lweggulo yeyavudde mu mbeera natta omugoba w'e mmotoma eneetisi y'emigugu Julius Ssemwaka. Ayogerera Poliisi mu gwanga Rusoke Kituuma atubuulidde nti newankubadde musajja waabwe tebanamukwata naye bakakasa nti kyeyakoze kyonna yabadde nsobi. Poliisi yeeyamye okukola ku byokuziika byonna.