Omusubuuzi atiddwa mu bukambwe e Buwama
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Buwama mu disitulikiti ey'e Mpigi, mutuuze munaabwe era abadde omusuubuzi ow'erinnya mu kitundu kino Isaac Mugabe,bw'akubiddwa amasasi agamusse mu kiro ekikeesezza leero.Ono abamusse bamusanze ku gate nga ayingira mu makaage nago agasangibwa mu kitundu kino nebamusindirira amasasiPoliisi ettemu lino etandise okulinonyerezaako.