Otafiire azzeemu okulabula Poliisi ku ky’okukuba ababa bateeberezebwa mu misango nga bakwatibwa
Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Rtd. Maj Gen.Kahinda Otafiire azzeemu okulabula Poliisi ku ky’okukuba ababa bateeberezebwa mu misango nga babakwata ng’agamba nti ogwabwe gwakukwata ssikubonereza Otafiire bino abyogeredde ku kitebe kya bambega ba Poliisi e Kibuli gyatongolezza omulimu gw’okuzimba ekifo awagenda okuterekebwa n’okusunsulwa ebikwata ku misango egyenjawulo mu ggwanga