Ow’e Kiryandongo gwe battira mutabani we agumbye ntebe
Waliwo Omusajja ayagala okusisinkana omukulembeze w’eggwanga okumuyambako okufuna obwenkanya olw’ebikolobero byazza akolebwako abapoliisi n’abakuumi b’a kkampuni y’obwannanyini. Joseph Karisa nga mutuze we kiryandongo agamba nti mu 2023 batabani be babiri baakubwa amasasi omu n’afa nga byekuusa ku nkaayana ku ttaka kwawangaalira. Kyokka ono agamba nti omusango gwatuuka okuggalwa nga talina kyamanyi era nga n’egyebuli eno tafunanga bwenkanya. Agamba nti mu kiseera kino ettaka lye likuumibwa Poliisi era nga n’ente ze yalina zaalugenda. Ono agumbye mu kibuga Ntebe ngalindirira omukisa okusisinkana omukulembeze w’eggwaga.