Poliisi eremeseza Bobi Wine okugenda ku mizannyo e Kasokoso
Poliisi n’ebitongole ebirara ebyokwerinda biremesezza bannakiniina ki National Unity Platform okutekateeka omuzannyo gwomupiira gwebabade bategese ku ssomero li St Mary’s - Kiganda e Kasokoso. Omugenyi omukulu abadde asuubirwa kubeera akulira ekibiina ki NUP Robert kyagulanyi Ssentamu , kyoka abadde tanatuuka poliisi neeyiwa abawanvu n’abampi. Amyuka ayogerera poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire atugambye nti bano tebaayise mu mitenedera gyetaagisa nga nga batekateeka emizanyo gyino.