Red Cross edduukiridde abantu amataba gegaalumba e Katakwi
Ekitongole ki Uganda Red Cross kidduukiride abantu 150 abaakosebwa amataba omwezi oguwedde mu disitulikiti ey’e Katakwi n’ebintu eby’enkizo mu bulamu obwa bulijjo. Abantu abayambiddwa babade bava mu miruka ebiri okuli Palam ne Ngariam ng’omukolo gukulembeddwamu omubaka w’ekitundu kino era minisita w’ebyemizanyo Peter Ogwang. Ogwang asiimye Red Cross era neyeeyama okukwasizaako abatuuze mu kuzimba ebidiba ebinene ebisuubirwa nti byandiyamba okutangira abantu b’omukitundu kino okuddamu okugoyebwa amataba.