Sheikh Shaban Mubajje ayanukudde abaagala okumusuusa obwa Mufti
Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadan Mubajje ayanukudde abasiramu abaavudeyo nebekalakaasa nga bawakanya okulondebwakwe, nebatuuka n'okutwala ekiwandiiko mu palamenti eyingire mu nsonga zaabwe. Mubajje bano abategezeezza nti okuggyako nga tebatera kufuna budde kuyisaayisa maaso mu ssemateeka wa busiramu, bandibadde bakimanyi nti aliwo mu mateeka. Mubajje abadde asisinkanye ba district khadth okuva mu district z'obusiramu 82 nabo abasuubizza okumuwa obuwagizi bwonna bwe yetaaga.