SSEMAKADDE: Aba ULS baakujulira, bagamba ssi baakuva ku mulamwa
Ensala y'omulamuzi Ssekaana eyasindise Isaac Ssemakadde mu nkomyo okumala emyaka ebiri, abekibiina ekitaba bannamateeka ki Uganda Law Society bagamba nti yayisiddwa mu bumenyi bw'amateeka. Bano beewuuna engeri omulamuzi ono nga y'omu ku babadde beemulugunya ku ssemakadde ate okubeera mu mitambo gy'omusango gwe. Amyuka Pulezidenti w'ekibiina kino agamba nti baakujulira ensala eno gye bagamba nti egenderera kubajja ku mulamwa gw'okuteeka essiga eddamuzi ku byenfuga y'amateeka egasa bannayuganda.