TAMALE MIRUNDI AFUDDE: Biibino ebitonotono ebimukwatako
Amanya ge amajjuvu ye Joseph Tamale Mirundi .Yazalibwa mu mwaka 1964 ku kyalo Matale - Kalagala mu tawuni ye Kalisizo mu disitulikiti ye Kyotera mu maka g'omugenzi Yowana Mirundi ne Molly Namatovu.Mirundi yasomera ku Lubaga Senior Secoundary school ng'eno gye yava n'agenda ku Yunivasite y'e Makerere gyeyasoma ddiguli mu by'amawulire.Mu mwaka gwa 1998 bweyamaliriza emisomo gye yatandika okukolera olupapula lw'amawulire olwa Munno, bweyavaayo yeegatta ku the Voice n'oluvannyuma n'awandiikirako Lipoota.