Okukwata abatuuze e Nakasozi, poliisi yakunoonyereza ku baserikale b’ayo
Poliisi etubuulidde nga bw'etandise okunoonyereza ku baserikale baayo ku poliisi y'e Nakaso Buddo erumirizibwa okukwata abatuuze n'ebakuba ebifaananyi n'ebiweereza nti be bamu ku bamenyi b'amateeka ab'olulango so nga eba ewaayiriza-bawaayirize. Bino poliisi nayo yabiggye ku butambi obutambuzibwa ku mukutu gwa Tiktok nga ababukola baliko n'amaloboozi ng'abatuuze ebazze bakwatibwa. Kyokka abatuuze mu kitundu ky'e Buddo bino babiwakanya era nga poliisi erabudde ababungeesa ebigambo bino nti singa biba bikyamu, kanaabajjutuuka.