Okulonda abakulembeze mu bibiina, NUP ennyonnyodde by’egoberera
Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya ategeezeza nti ekibiina kyakugenda nokusunsula abakulembeze abagenda okubakwatira bendera mu kalulu ka 2026 okusobola okufuna abakulembeze abembavu. Kino kidiridde emisoso egyayitiddwamu okusunsula abakulembeze abeegwanyiza okukwatira ekibiina bendera mu kalulu kokujjuza ekifo kyomubaka wa Kawempe North okuyita mumisoso egyanjawulo okwawukanako nga bwegubadde mu kibiina.