Bbanka enkulu efunye Gavana omuggya
Olwaleero omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni afulumizza amannya ga bantu babiri baayagala bafuulibwe abakulira banka enkulu ey’e ggwanga oluvanyuma lw’olwetegerezebwa akakiiko ka palamenti akakasa baaba alonze. Aboogerwako kuliko Dr. Ating-Ego abadde akola nga akulira banka enkulu , kko ne Prof Augustus Nuwagaba nga y’agenda okukola nga omumyukawe.Kati bano abasigalidde kusunsulwe , bakkalire mu bifo bino.