OKWEKALAKAASA KWA PLU; Kukomye mu kkubo, ab’oludda oluvuganya bbo bakwatiddwa
Ababaka naddala ab'oludda oluvuganya basekeredde ab'ekisinde ki Patriotic League of Uganda abagezezzaako okutambula okutuuka ku palamenti nga bawakanya kye bayita okuyisa amaaso mu muduumizi w'eggye ly'e ggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba. Aba PLU baliko n'ebifaananyi by'abamu ku babaka ba palamenti bye bazze batambuza nga bagamba nti abo bebasinga okumalako omuntu waabwe Muhoozi emirembe nga bamukakkanya emisana n'ekiro. Ababaka bagamba nti waliwo babaka bannaabwe, bebayise ba kireeresi abatandise okukola ebitali ku mulamwa. Mu ngeri etataera kulabika, ab'ebyokwerinda bano tebabakonyeeko era batambudde awatali abakuba ku mukono.