Okuzza obuggya enkalala z’abalonzi kwongezeddwamu ennaku musanvu
Akakiiko k'eby’okulonda kongeddeyo ennaku ndala musavu okukola omulimu gw'okuzza obuggya enkalala z'abalonzi, nga kati omulimu guno gwa kufundikira ku bbalaza ya ssabiiti eggya ng'ennaku z'omwezi 17, omwezi guno. Akulira akakiiko, Omulamuzi Simon Byabakama ategeezezza nti baakweyambisa ennaku omusanvu ezongeddwamu okutuuka mu buli kanyomero ka ggwanga n'okukasa nti tewali alekebwa mabega mu nteekateeka eno.