Palamenti ekubyeemu ttooci abalamuzi abaggya
Olwaleero Palamenti esunsudde abantu abalondeddwa ku bifo by’obulamuzi ku mitendera egye’enjawulo nga bano bakulembeddwamu eyalangiriddwa ku kifo ky’amyuka Ssaabalamuzi wa Uganda Flavian Zeija. Abalamuzi bano bagamba nti kati owumwendo gwabwe okweyongerako kigenda kuyambako okukendeeza emisango egikandaalirira mu kkooti. Kyokka akulira oludda oluvuganya mu palamenti agamba nti tawagidde kya kuteekawo balamuzi mu kkooti enkulu nga bakolanga ab’ekiseera ono ayagala abalamuzi bano bakakasibwe nga y'engeri yokka gyebasobola okutuusa obwenkanya ku bannansi.