TTABAMIRUKA WA PFF:Besigye akunze abavuganya gav’t okukolera awamu
Eyavuganyaako ku bwa pulezidenti emirundi enna Dr. Col kiiza Besigye ayagala abavuganya gavumenti ku mulundi guno bafeeyo nnyo okukolera awamu, olwo lwebanaasobola okusiguukulula gavumenti ewangadde mu buyinza kyenkana emyaka 40. Mu bubaka bwaweereza ng’asinziira mu kkomera gy’akuumirwa ku misango egyekuusa ku kulya munsi olukwe Besigye agambye nti obutakwatagana mu bannabyabufuzi muziziko munene eri enkyukakyuka. Bino bibadde mu ttabamiruka w’ekibiina ki Peoples Front for Freedom asookedde ddala nga muno mwebatongolezza n’obukulembeze bwakyo obw’okuntikko.