Waliwo abatuuze abasobeddwa amataba mu Kampala
Enkuba ekedde okufudemba wano mu kampala n'ebitundu ebiraanyewo evuddeko amataba aganjaalidde mu nju z'abatuuze abamu era nga bangi basobeddwa . Ebitundu ebisinze okukosebwa mu Kawempe, Namasuba, Nateete n'ebirala . Poliisi nayo eriko okulabula kw'ekoze eri abebidduka ne bannayuganda okutwaliza awamu.