Winnie Byanyima agamba bba yawambibwa-buwambibwa
Winnie Byanyima mukyala wa Dr. Kiiza Besigye atubuulidde nti amawulire g'okukwatiibwa kwa bba gaamusanga mitala w'amayanja gy'ali mu kiseera kino. Ono alumiriza nti bba yawambibwa buwambibwa okuva ku kisulo weyali apangisizza okusula nga yetekateekera okwetaba mu kutongoza ekitabo kya Martha Karua omu ku bannabyabufuzi abagundiivu mu ggwanga lya Kenya. Gavumenti etubuulidde nti waliwo amateeka mweyayitidde okukwatira Besigye mu ggwanga eddala.