Wuuno bazadde be gwe baasuulawo olw’obulemu
Waliwo omwana aliko obulemu eyanunulwa e Kasese oluvannyuma lw'okusuulibwawo bazadde be, ayoledde okudda mu mbeera embi gye yavaamu singa tebaawo kikolebwa kumujuna. Omwana ono mu kiseera kino alabirirwa abekitongole ekyola abataaliiko mwasirizi Notdeck wabula nga kino kyakumulabibira emyezi mukaaga gyokka ng'oluvannyuma kiba kirina okumuzza mu benganda mu kiseera kino abateesobola. Omwana ono yali awangaala ne Jaja we ku kyalo Kiruuli ekisangiwa mu ggombolola ye Maliba.