Wuuno Joanita Nakavuma akuze anoonya kitaawe
Joanita Nakavuma mukyala kati emyaka awezezza emyaka 29, kyoka nakati anoonya kitaawe gw'atalabangako okuva lweyazaalibwa ,oluvanyuma lwa nnyina okufa nga tamubuulidde bituufu bikwata ku kika gy'azaalwa. Nakavuma agamba wadde akuze nga n'abaana azadde, embeera y'obutamanya kitaawe emusuza akukunadde.