Wuuno omukyala Grace Bukirwa Byakagaba ayamba bakazi banne okutumbula embeera zaabwe e Masindi
Ku kyalo Muro mu ggombolola ye Bujenje e Masindi, waliwo omukazi awaddeyo obudde bwe okusomesa bakyala banne engeri enyangu gyebayinza okwegobako obwavu. Omukyala Grace Bukirwa Byakagaba Amooti okusinga ayamba nnyo bakazi banne okutumbula embeera zabwe nga ayita mu kubatandikirawo n’okubatendeka ebintu ebivaamu ssente nga okulima, okulunda enkoko, n’ebintu ebirala.