Zaake y’alina okwetonda:Omubaka Akol avuddemu omwasi, agamba teyejjusa kye yakola
Omubaka wa Kilak North, Anthony Akol avuddemu omwasi ku by'okukuba mubaka munne owa Munisipaali ye mityana Francis Zaake. Akol agamba nti si yeyali mu nsobi era ng'ayagala Zaake amwetondere olw'ebyaliwo. Wetwogerera nga bannamateeka ba Zaake bamaze okuwandiikira Omubaka Akol nga nga bamulaalika nga bwe bagenda okumukuba mu mbuga z'amateeka. Olwaleero Omubaka Zaake Lwasiibuddwa okuva mu ddwaliro e Nsambya .